Incubatee - Allen Ssebina, Lies about Women | OKUZIMBULURA OBULIMBA MU MUNTU N’OKUMUZIMBAMU AMAZIMA


Mu Lubereberye 1: 26-27, Katonda yatonda omuntu mu kifananyi kye era mu ngeriye mweyabatondera omusajja n’omukazi n’abawa omukisa n’obuyinza bafuge eby’omunsi byonna. Kino nno kitegeeza nti ssi buli omu kufuga munne. Bwekityo omusajja n’omukazi benkana mu bufuzi bwomu nsi enjawulo eri mu nkola y’empalo zaabwe. Katonda bwatyo bweyabitegeka okuviira ddala ku ntandikwa. Naye, nkizudde nti waliwo obulimba obwazimbibwa mu ndowooza z’abantu  nga bwebutusibidde mu mbeera embi. Endowooza nga zino:

·      Omukyala kikozesebwa kya musajja

·      Abaana abaleenzi bakitalo okusiinga abawala.

·      Obufumbo obutali bwa mpeta buba bwakibi.

·      Okufuuka omusajja oba omukazi bamala kukukolako mikolo.

·      Abakazi okuwaalirira omwenkanonkano n’abasajja.

·      Okusaanga omukazi oba embwa obeera osaanze kisiraani.

·      Omusajja asajjalaata era tabalirwa nzaalo.

N’obulimba obulala bungi nnyo obwazimbibwa  amadiini n’amawaanga obussa ennyo wansi abakyaala nebugulumiza abasajja nebuviirako abantu okunyigirizibwa mu bulamu nebatuuka okwetamwa ensi ennungi Katonda gyeyatuwa.

Setaani y’akozesa obuwangwa n’amadiini okutuzimbamu eby’engeri eno abasajja nebalaluka, obufumbo nebutama, n’abaana nabo nebatwononekako.


Nakula ndaba kitange ngalina abakyala babiri wennatandikira okutegera n’okwawula obulungi n’obubi;nga ndaba okwagala kulimu olubege, ne mu baana nga mulimu ebyaana.  Obutali bwenkanya nga nebwokyala ewaffe obulaba.Nalowooza nti bwebirina okubeera.   Nafuna ekirowoozo nti bwendituuka okufumbirwa sagala kugenda mu maka galimu mukazi kumujooga, wakiri nze nsokewo bajoogenze. Ekiseera kyatuuka nenfumbirwa nga bwenakyaagala naye byennalaba tebyayawukana n’ebyaali ewa kitange kubanga Katonda ssi bweyabiteekateka;nnalowooza kyabusiru kubanga nnali neriimba kyali tekikola,

Okulokoka kwannyamba okumanya amazima nga omusajja bamutondera omukazi omu era nga mufuzi munne naye bwebajeemera Katonda, awo ebintu webyakyuukira kati abantu tukozesa bubi obuyiinza kubanga Setaani yatuziba amaaso. Omwana wa Katonda kyeyava ajja atuzibule amaaso tutegeere amazima Katonda g’eyamalirira edda ffe okugatambuliramu bwatyo amalewo emilimu  gya Setaani.
Okutegeera kuno kuvuddemu ekilowoozo eky’okuzimbulura endowooza embi ezazimbibwa mu bantu n’okuzimbamu endowooza entufu. Nze nsookedde mu bakyaala kubanga be bamaama bamawanga era bebazaala ate  era bebasiinga okukola omulimu ogw’ okulera.

Katonda atwagaliza okubeera  obulungi era yateekateeka okuva edda n’edda nga ffembi tuli bafuzi ab’ebintu byonna munsi ng’omwami ye mukulembeze era ng’ayagala mukaziwe nga Kristo bweyayagala ekkanisa neyewaayo ku lwaayo –Abefeeso 5:25. Era nga n’omukyaala abeera mu kifokye ng’omubeezi omulungi atakola kintu kyonna nabuwaze era ng’abeera omukkakamu era ng’awulira omwamiwe mu buli kigambo nga bw’awulira Kristo.

Kikugwaanira obutamatizibwa nambeera nga bweeri bwetuba abokulaba obulungi Katonda bw’atwagaliza nga abantu.


Kulw’ensonga eyo, mpita abantu mwenna okugolokoka tugaane obulimba obutumaamidde nga buva mu mawaanga ne mu ddiini, nga tuyigiriza amazima g’ekigambo kya Katonda agali mu Kristo. Tulaambike bulungi ekifo ky’omusajja n’eky’omukazi n’empalo zaabwe. Tugunjure abaana ab’obuwala n’abobuleenzi basimattuke emitawaana ffe gyetwagwaamu. Bwetutyo tutegekere omuleembe oguddako gube mulungi, olwo tufuuke eggwanga eddungi eribuulira ebilungi by’oyo eyatuyita. 1Petero 2:10.
Kino ndaba nga kilungi nnyo ddala kubanga kitereeza obufumbo, kinyweeza era kiziimba amaka wamu n’okukulakulanya eggwanga.
·      Tandikira ku butamatizibwa na mbeera eriwo,
·      Noonya okumanya amazima agali mu Kristo era ogatambuliremu,
·      Beera wa lwaatu ku mazima g’otegedde kijja kukusisiinkaya nebemufaanaya endoowoza,
·      Ntuukirira kulw’emisomo ku nsonga eno.
Tusobolera ddala okukyuusa ensi!

Comments

Popular posts from this blog

5 years of Leadership 555 Uganda (L555), 2012-2017

Information Breakfast, Oct 2016.